Buganda Kingdom
@BugandaOfficial
This is the Official Account of the Kingdom of Buganda.
ID:2958184379
http://www.buganda.or.ug 03-01-2015 09:40:40
10,9K Tweets
144,5K Followers
178 Following
Follow People
Happy Birthday HRH Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV of Tooro Kingdom.
We extend our heartfelt wishes to you and all the people of Tooro Kingdom.
#OKULABULA
Tubakubiriza okwewala obulwadde bw'amaaso obwabalukawo mu Ggwanga gyebuvuddeko.
Obulwadde buno busaasanyizibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala, n'olwekyo tusaana okubeera abeegendereza ate n'abalina obulwadde mukubirizibwa okugenda mu ddwaaliro okufuna…
Olukalala lw'Abaami ab'Amasaza abaggya n'abo abatakyusiddwa mu bujjuvu:👇
Obuweereza bwammwe butandikiddewo okukola nga 15/04/2024, kyokka Minisitule ya Gavumenti ez'Ebitundu egenda kukola entegeka mu bwangu okulaba nga mukkalira bulungi mu ntebe.
#AgafaEmbuga
Kabaka Asiimye n'Awummuza Abaami mu Masaza gano;
1. Ssingo
2. Kyaggwe
3. Mawokota
4. Gomba
5. Bugerere
6. Buluuli
7. Busunju
8. Buweekula
9. Mawogola.
#AgafaEmbuga
Katikkiro Charles Peter Mayiga n'Omukyala mu kifaananyi n'abazannyi abaazannye nga Romeo ne Juliet (Kulunkalu ne Kulumbisi).
Empaka Nnalulungi w'Ebyobulambuzi mu Buganda 2024 ziri mu ggiya.
Amasaza okuli Kabula, Ssese ne Kkooki gamaze okulonda abanaagakiikira mu mpaka ez'akamalirizo.
Empaka z'omwaka zitambulira ku mulamwa: Ebyobulambuzi n'Emirembe.
#MissTourismBuganda2024
MISS TOURISM UGANDA-PA…
'Kabaka Mutebi II yalangirirwa okubeera Kabaka ng'akyali mu lubuto lwa Maama we'
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde ebyafaayo ku kuzaalibwa ka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
#KabakaAt69 #KabakaWange
youtu.be/3EUZ7m6SygM
Empaka z'eggaali z'Amasaza mu Buganda 2024 ziggudwawo.
Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo, Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone asimbudde abavuzi okuva mu Masaza ag'enjawulo abakungaanide e Luweero mu Bulemeezi enkya ya leero.
#BugandaMasazaCyclingTours #KabakaAt69
Nnabagereka Sylivia Nagginda, nga awuliriza enjiri y'omusumba Samuel Kajoba akulembeddemu okubuulira ku kkanisa y’Abadiventi e Najjanankumbi mu kujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 69.
#KabakaAt69
Katikkiro Charles Peter Mayiga: Ensonga ya Buganda Ssemasonga ey'okutaano ey'Obumu esinga kweyolekera ku mazaalibwa ga Ssegwanga.
Mbakoowoola baganda bange ne banyinaze, tunyweze obumu nga Ccuucu ke kabonero ak'okwegatta okwo.
Tewali kigenda kutulema kuwangula nga tuli kitole, bwentyo…
Katikkiro Charles Peter Mayiga: Obulamu bwa Kabaka waffe bulimu ebiwayi ebikulu bisatu, ekiwayi ky'Obulangira okuva mu 1955-1969, eky'obwa Ssaabataka okuva 1969-1993, n'ekiwayi eky'obwa Kabaka atuuziddwa ku Nnamulondo okuva 1993 okutuuka leero n'okweyongerayo...
#KabakaAt69 #KabakaWange
Ebimu ku bibadde e Najjanankumbi mu kusaba kw'okujaguza Amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 69.
#KabakaAt69 #KabakaWange
Okusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu kujaguza Amazaalibwa ag'emyaka 69.
#KabakaAt69 #KabakaWange
Omumbejja Katrina Ssangalyambogo naye waali mu kusinza e Najjanankumbi okw'okujaguza emyaka 69 egy'obulamu hwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
#KabakaAt69